Zephaniah 2

Abalabe ba Isirayiri basalirwa omusango

1 aMukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,
mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
2 bekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
3 cMunoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,
abakola by’alagira;
munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;
mpozzi mulikwekebwa
ku lunaku olw’obusungu bwe.

Obubaka eri Abafirisuuti

4 dGaza kirirekebwawo,
ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
ne Ekuloni kirisimbulibwa.
5 eZibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
so tewaliba asigalawo.
6 fOlubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera
luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
7 gOlubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
n’akomyawo obugagga bwabwe.

Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni

8 hMpulidde okuvuma kwa Mowaabu
n’okusekerera kw’Abamoni
kwe bavumye abantu bange
ne batiisatiisa ensi yaabwe.
9 iKale nga bwe ndi omulamu,
bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,
ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,
n’abaana ba Amoni nga Ggomola,
ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,
amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,
n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.

10 jEno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,
kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
11 k Mukama aliba wa ntiisa gye bali
bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.
Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,
buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.

Obubaka eri Abaesiyopiya

12 lNammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.

Obubaka eri Obwasuli

13 mAligololera omukono gwe ku bukiikakkono
n’azikiriza Obwasuli;
n’afuula Nineeve amatongo
era ekikalu ng’eddungu.
14 nEnte n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
kafakalimbo ajjudde mu miryango,
n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
15 oKino kye kibuga ekya kyetwala,
ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,
Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:
nga kifuuse bifulukwa,
ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!
Buli muntu akiyitako aneesoozanga
n’akinyoomoola.
Copyright information for LugEEEE